MALI AND JOWI LYRICS

"SABA" From MALI & JOWI

Intro
Na na na....... Ah ah.... Oh oh oh................
Saba.....Saba......hey

Chorus (Mali & Jowi)
Saba ......., wegayirire,
Saba mwattu,
omwoyo omuttukuvu
Saba ...., wegayirire,
Saba mwattu,
omwoyo omuttukuvu,
akukulembere..........,
oh oh oh ye oh oh.

Verse 1. (Jowi)
Ebigoba omwoyo omuttukuvu tebivawala.
Ebitusigula munsi eno nabyo bingi nyo,
(Mali)
byebiriwa mukwano?
Njagala mmanye nange.
(Jowi)
Engambo, Obulimba byewale,
Obusungu bwo bunakuwaza omwoyo omuttukuvu
(Mali)
Bwe sibyewale kiki ekinantukako, Joan?
Kubanga mmanyi, Amalala,
ago mwattu nnina mangi,
Obulimba bwo simanyi,
bundi mumusayi,
kati nkoze ntya munange,
okubyewala?

chorus.

verse 2. (Jowi)
Omwoyo wo oyo nga agenze ,
Ofuna ebikemo ebitagambika,
endwadde enyingi , nensobi,
zokola nga totegedde,
Wengambila Stella saba
mukama omulungi yye yatusubiza,
omwoyo omuttukuvu atukuume.
(Mali)
Kitufu kyogambye bambi
Kubanga byempisemu bingi nyo tebigambika,
endwadde, obubengye no’kufilwa
abengandda benayagalanga enyo
Kati kansabe mukama anyambe
Kubanga yye tatulekerela.
Yensonga lwaki Yatuwa omwoyo,
atukulembere.

chorus.

Saba ......., wegayirire,
Saba mwattu,
omwoyo omuttukuvu
Saba ...., wegayirire,
Saba mwattu,
omwoyo omuttukuvu,
akukulembere..........,
oh oh oh ye oh oh.

Outro
Oh oh oh Saba........

WRITTEN BY
MALI AND JOWI


Comment on "Mali and Jowi - Saba Lyrics "

  • LIKE GOSPEL MUSIC ON FACEBOOK :