EDDIE SSENONO LYRICS

"SIBYAKUWANIKA" From GMP PROMOTIONS

Lyrics 
Olugendo luno olw'okuba obulungi iyii nga luwanvu era bangi bekonye tebatasituka, bino byebangambye byantisiza muganda wange nawulidde nti oyagala kubivamu owanike, naye ggwe tolina kuba bwotyo omwana wa Kabaka asingayo oyina kulwana era kulemerako paka kumalako

Chorus 
Sibyakuwanika no no yadde ng'olina abalabe bangi Katonda atalya nguzi mwesigwa akulowoozako nawe Kati obujulizi bunavawa nga ggwe omala gawanika otyo 
Oyina kuguma munnange olabe obujulizi ooh oyina kuguma mukwano owangule

Tujja kusomoka kagube muliro Kasita yasuubiza nti tali tuleka, kagabe amazzi amangi era tulisomoka emitala w'eri nkuyite kuguma nkuyite kulemerako tomala gawanika akulwanilira mwesigwa tali kuleka ekyo kimanye olya bubi leero enkya manya nti ojjakulya bulungi ggwe tomanyi onawona otya ebizibu byo Mukama amanyi

Nakuwulidde ng'oyogera mbu Mukama olimba nawe nze omulokole mbeera ntya bwenti nga Abimisiri bali bulungi, nakulese wemulugunya ne mu kusaba wavuddeyo ng'onyiize naye nga tonnaba kwemulugunya kankubuuze yo akabuuzo ani yakuyisa wali bwewali ku kisenge bwewali osiranye nze ngamba nti era amanyi gali tegakendera lwakuba ggwe oyagala kubijjula nga tebinnaba nakugya olimbye nno

Tujja kumalako obwavu bulume naye enkya manyi njakuba bulungi ebiriwo leero madaala gantuusa wali gy'engenda abawanguzi tebaba banafu era tebakoowa mangu ne bewesiimisa nabo kulemerako kwe kwabayamba lwakuba ggwe oyagala kubijjula nga tebinnaba nakugya olimbye nno

 

WRITTEN BY
EDDIE SSENONO


Comment on "Eddie Ssenono - Sibyakuwanika Lyrics "

  • LIKE GOSPEL MUSIC ON FACEBOOK :

This Week's Top Song

Luganda Gospel Nonstop | GMP Promotions
Downlod Song Play Song

GMP Promotions-Luganda Gospel Nonstop

Trending

Music & Videos
RECENT SEARCHES (0)
VIEW ALL

Featured Song

Twalibaddewa | Grace Nakimera
Downlod Song Play Song

Grace Nakimera-Twalibaddewa

TOP VIDEOS (5)
VIEW ALL


MUSIC NEWS (5)
VIEW ALL


MUSIC ARTICLES (5)
VIEW ALL